Jump to content

Enkaka

Bisangiddwa ku Wikipedia
Hepatitisb virus

Omusujja gw’ekibumba, bulwadde obuleetebwa akawuka akayitibwa "hepatitis virus" era nga butera kukwata kibumba. Obubonero bw'obulwadde buno tebutera kulabibwa mangu naye bwe bukula omuntu atandika okufuna omusujja, okulumwa mu lubuto, okupeeruuka, okufuka omusulo omukwafu n'obulala. Akawuka kano (HVC) kasaasaanyizibwa nga kayita mu kugabana omusaayi, omwana ayinza okukafuna ng’azaalibwa. Ebika by'obulwadde buno bya ngeri nnyingi nga A, B, C, D ne E. Tewali ddagala lya bulwadde buno lyakakasiddwa naye busobola okukendeezebwa nga beekebejja omusaayi oguba gugabiddwa. Omuntu akwatiddwa obulwadde buno abeera asobola okuggyibwamu ekibumba. Olw’obulwadde buno, ky’ova olaba ng’abantu baggyibwamu nnyo ebibumba ensangi zino. Obulwadde buno okusinga buli nnyo mu ssemazinga w'omuddugavu wamu n'obugwanjuba bwa Bulaaya era kigambibwa nti abantu wakati w'obukadde 150-200 be balina obulwadde buno mu nsi yonna. Mu 2015, abantu abaafa Obulwadde buno baali 343,000.

Engeri omusujja gw’ekibumba gye gusaasaanyizibwa

[kyusa | edit source]

Obulwadde buno businga kusaasaanyizibwa nga buyita mu kugabana musaayi wamu n'engeri z'obujjanjabi ezirimu obulagajjavu.

Enkozesa y’eddagala

[kyusa | edit source]

Kigambibwa nti ensi 77 ze zirimu obulwadde buno. Mu nsi ezo ne Amerika mweri. Mu Amerika bakozesa, “intravenogus drugs". Ensi endala Obulwadde mwe bulabibwa mulimu Russia. Mu Russia, abantu akakadde kamu n'emitwalo esatu balina obulwadde buno.

Ensaasaanya y’omusujja gw’ekibumba

[kyusa | edit source]

Okugabana omusaayi wamu n'ebintu ebikozesebwa okugaba omusaayi awatali kusooka kubaako ngeri ya kikugu kiviirako okusaasaanya obulwadde buno. Ebintu ebikozesebwa mu ddwaliro ng’empiso, obugoye abasawo bwe bakozesa ku balwadde ab'enjawulo n'ebirala bisuubirwa okuba nga bisaasaanya obulwadde buno.

Okwegatta

[kyusa | edit source]

Wakyaliwo okutankanibwa oba obulwadde bw'enkaka busobola okusaasaanyizibwa nga buyita mu kwegatta. Waliwo okunoonyereza okulaga nti akawuka kano kasobola okusaasaanyizibwa nga kayita mu kwegatta nga bwe kiri ku kawuka akaleeta mukenenya. Ekibiina kya "United States Department of Veterans Affairs" kikubiriza abantu okukozesa obupiira okwetangira obulwadde buno.

Engeri z'okwewunda

[kyusa | edit source]

Okwekuba ttatu kigambibwa nti ziviirako obulwadde buno okusaasaana kubanga "dyes" zino abantu ze bateeka ku mibiri si nnungi era za bulabe nnyo.

okugabana ebintu ebikozesebwa

[kyusa | edit source]

Abantu okugabana ebintu ng'eggirita, obusenya, empiso n'ebintu ebirala ebiyinza okuviirako omusaayi okwetabika kisuubirwa okuba erimu ku makubo agasaasaanya obulwadde buno.

Maama okusiiga omwana

[kyusa | edit source]

Kigambibwa nti si kyangu maama okusiiga omwana obulwadde buno ng’akyali munda. Wabula omwana asobola okubufuna mu kaseera k’okuzaalibwa singa omusaayi gw’omwana gwegatta n'ogwa maama we. Bamaama era baweebwa amagezi obutayonsa singa babeera n'ebiwundu ku nnywanto oba nga zivaamu omusaayi.[1]

  1. https://en.wikipedia.org/wiki/Hepatitis_C